www.guthriememorial.org

 


 

Articles


BEWARE THE TITHE TRAP
translated into the Luganda language

EBISOOKERWAKO

Okufaananako n'ebinkumu byaffe okubeera eby'enjawulo, bwe kityo n'endowooza zabantu ziba tezifaanagana. Obutefaanagana buno bwe butufuula ki kyetuli.

Mukama singa akuwa obusobozi okuvumbula eddagala eriwonya ekirwadde ekizibu ennyo, bwandibadde buvunnanyizibwa bwo okubuulira ku banno ekyama kino? Wandigabanye ne banno ku magezi go gona? Nandirowoozezza nti kya nsonga okubabuulira okusobola okumalawo okubonaabona!

Bwovumbula obutali bwenkanya nga bukolebwa ndowooza kyandibadde kirungi okubwanika. Musa yakiraba nga kigwanidde, Jefferson naye bwe yakola, Ghanda yamalirira okwatula, era ne Joan owe Arc naye yakola atyo. Buli lwe tuzuula nga bantu bannaffe banyunyuntibwa tulina obuvunanyizibwa okwoleka ensi ebikyamu bino.

Naye waliwo enjawulo nnene wakati w'okwogera eddagala erivumbuddwa mu kuwoonya endwadde, n'okwanika obulimba obwasimbibwa mu mitima gyabantu nga balowooza nti ge mazima. okwatula obulimba kyetaagisa embavu kubanga amakanisa gano amanyuunyunsi tegeetagira ddala kulaba muntu alinnya mu luwombo lwabwe. bwe kityo bwekyali mu kyasa ky'ekikumi n'omwenda mu kusuubula abaddu, ne leero mu kyasa ky'abiri mu kimu bwe kiri ku bannyunyuusi bano, era bwe kijja okuba nga basajja bakulu bano abawoomerwa eby'ekkumi basomye ekitabo kino, manyi bajja kulumba omuwandiisi nga bamuyita amannya ganno nga mwe muli n'eryobuvvoozi.

Naye bambi eyinza okuba nga eriyo ababuulizi era n'abasumba ababadde balya n'okusaba ebitundu by'ekkumi mu butamanya, naye nkugamba nti oluvannyuma lwobubaka buno okukutuukakao ojja kuba tolina kyeweekwasa okujjako okusalirwa omusango. Ne mukama waffe yakyogera lwatu nti. '' mulina omukisa bwe banaabakolanga buli kigambo kibi olw'erinnya lyange, Musanyuke era mujaguze nnyo kubanga empeera yammwe nnene mu Ggulu, kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka'' (Mat ayo 5:11-12)

Eby'okuyiga bino bibyo ggwe omukristayo ayagala okumanya butya Bayibuli bweyigiriza ku bitundu by'ekkumi.

----------------------------------------

OKUWAYO EBY'EKKUMI: KYA BUSUUBUZI

Ebitundu by’ekkumi mukutu gwa bya nfuna munene mu makanisa mangi ddala emabegako katono mu bulabilizi bwa East Coast mu America. Bafulumya ennyingiza yaabwe mu bitundu by’ekkumi eyo mwaka. Mubulabirizi obuwerwmu bammemba 22,500, alipoota eraga nti mu mwka gumu gwooka baafuna ensimbi mu za ddoola $18,000,000.00 okwo kwe kubalilira okwangu nti buli muntu abeera yawaayo ddoola $ 800.00, ate nga totaddeko birabo bye bawaayo ku bwabwe mu makanisa gaabwe ne ku bulabirizi.

Olw'okuba nti nze kennyini ntuddeko mu nkiko z'obulabirizi obw'enjawulo okumalira ddala emyaka kkumi n'etaano, mbakakasa nti bo kye bayita okukula n'okugenda mu maaso kisinziira ku bya kkumi na bantu. bameka ababegasseko, era nga bino ebibiri babitunulira nkakaba nnyo era nga tewali abyemoolerako.

Ekirala mpozzi kye basimbako essira bye bintu ebikalu nga ebizimbe naddala eby'amakanisa. bateekawo n'ensawo ewola amakanisa amanafu oba amakadde ensimbi okweddabulula. mu kkanisa eno gye njogerako wadde nga abakkiriza mu kakanisa ako akawansi bebasasula ensimbi ezigula byonna, kyokka ate obulabirizi bwebubeera n'obuyinza ku byapa by'ettaka era n'ebizimbe byonna nga namasomero mwogatwalidde wamu n'amalwaliro.

Mu nkiiko zino zonna ze mbaddemu ez'obulabirizi sijjukirayo muluundi gwonna kiteeso kyaleetebwa ku kukulabirira abakadde, bannamwandu oba bamuleekwa, wadde abatalina we basula. wabula omulamwa gwasimbibwa nga ku malwaliro naye ngensonga eri emabega w'olutimbe eri nti abalwadde abajja mu ddwaliro baleeta omusimbi mungi ekitali ku bamulekwa ne bannamwandu kubanga bo balya buli nga tebalina ke baleeta mu ggwanika.

oyinza okumbuza nti ''lwaki tewabyogerako?'' njagala okukukakasa nti mu kiseera ekyo nange nali sinnaba kumanya mazimaga byawandiikibwa ku bitundu by'ekkumi. Naye oluvannyuma lw'okuzuula amazima ga Bayibuli okuyita mu kusaba n'okononyereza, mukama ampadde ekisa okutereeza ensobi zange ezaasooka. Tusigale nga tuwagira omulugube gwamadiini n'amakanisa oba bwetaavu bwa bantu?

Ekitabo kino kikulaga ebintu bibiri: (1) Enjigiriza ya Bayibuli ku bitundu by\ekkumi, omugaso gwabyo era n'enkozesa. (2) Ekkanisa yonna ekozesa ebitundu by'ekkumi essanye okukusaba esaanye okukisaba nga enkola y'okukunjaanya ensimbi so si ngenkola oba enjigiriza ya Bayibuli.

Ekiseera ky'okukkiriza kwomukristayo kirina kuba ku byawandiikibwa byokka so si Paapa, Nabbi, Kabona, Kabaka, Lukiiko, aba mateeka gakanisa. Si mpisa za nsi oba nkola za mwana wo muntu yenna. ''Bwe batayogera ng'ekigambo kino bwe kiri; lwakubanga tebalina musana. (Isaaya 8:20)

----------------------------------------

ESSULA ESOOKA

OKUWAYO EBITUNDU BY'EKKUMI MU NDAGAANO ENKADDE

Okusinziira ku byabalevi 27:32 eky'ekkumi kiba kitundu kimu ku kkumi ekyebyo omuntu byabeera afunye. Mu kyabalevi 14:28 abaana ba Isiraeli baagambibwa okuleeta eby'ekkumi ku byonna bye babeera bafunye.

Enkola y'ebitundu by'ekkumi eno yali yabeerawo dda nnyo nga n'eggwanga lya Isiraeli terinna baawo, nga nkola y'abakaafiiri era nga kyalowoozebwanga nti singa ba lubaale baabanga tebaweereddwa mitemwa gyabwe olwo abantu emikisa baabanga bakugifuuwa mu ngombe omwaka oguddako. (James Hasting Dictionary of the Bible. 1005)

Eby'ekkumi tebyasabibwanga lwa mikologya kusinza gyokka, naye era n'abafuzi b'amawanga oba ensi baabisabanga okuva ku bantu baabwe

OKUWAAYO EBY'EKKUMI LYALI TEEKA LYA MIKOLO

Nga tuyiga ku ky'ekkumi kino tujja kukizuula nti kitandika okulabikako mu Lub 14:17-24 nga Ibulayimu awaayo ekitundu kyekkumi eri merekizeddeki kabona era Kabaka we Saalemi. Tewaliiwo teeka mu kigambo kya katonda eryali lilagira Ibulamu okuwaayo eky'ekkumi eri Merekizaddeki ku munyago (laba era n'essula 3)

Eky'a mazima kiri nti eky'ekkumi kyawandiikibwa mu mateeka ag'emikolo nga mwe muli ebiweebwayo eby'okebwa, saddaaka, obweyamo, ebiwebwayo wamu n;okukomola (Balevi 12) kyamateka 11,12,14 ne 26 era nga byonna byali bya kukola mu nkola yekireevi ey'obwakabona. olw'okuba Ibulayimu yawayo eky'ekkumi ngamateeka ga musa teganajja abamu balowooza nti ye nsonga lwaki ekyekkumi kirina kubeera kya lubeerera.

Amakanisa agamu gayigiriza nti Ibulayimu ''Yasasula'' So si nti ''yawa'' ekimu ekyekkumi ku munyago gw'olutalo eri merekizaddeki mbu kubanga waaliwo etteeka ly'eky'ekkumi eritaali mu buwaandiike. Naye wekkanye kino nti ekikolwa kya Jjajjaffe tekirina kakwate na tteka lya kya kkumi eryajja oluvannyuma mu Baleevi. Etteka ly'ekirevi lyo lyali liragira omuntu okuwaayo ekyekkumi ku bibala bye ttaka na nsolo byokka Balevi 27:30-31 ate nga gwo omunyago ogunyagiddwa mu lutalo gwanjawulo ku bifuniddwa mu kulima. lyo etteeka lya Musa lyalagira nga Bakabona okufuna (kimu kyakutano) ku ebyo ebinyagiddwa mu ntalo so si (kimu kyakkumi). Nolwekyo etteeka erikwata ku binyagiddwa mu ntalo teryalina kakwate na kuwaayo kimu kyakkumi. mu ggwanga (Kubala 31:27-29) Na bwekityo ggwe agamba nti Musa mu Lubereberye yali awandiika tteeka lya nsi yonna ate alivaako nga wayise emyakka 400?

Okuwayo kwa Ibulayimu kyali kirabo kya kyeyagalire era lwa kusiima teri kyali kisukkako awo.

EKIRABO KYA YAKOBO ERI MUKAMA

Obukakafu obulala obulaga nti eky'ekkumi kwali kuwayo kwa kyeyagalire eri mukama nga etteeka lya musa terinajja kye kisuubizo Yakobo kye yawa mukama mu (Lube 28:20-22) onojjukira bulungi nti Yakobo ye yali agenda okufuuka taata we bika 12 ebya Isiraeli ebyala bigenda okuvaamu eggwanga lya Isiraeli. Yakobo yeyama mu maaso ga Mukama nti bwana mukuma, era n'amugbirira n'eby'okwambala n'eby'okunnywa, yali wa kuwa mukama ekimu eky'ekkumi ku bintu bye. wetegereze, singa obweyamo bwa Yakobo obwakakwakkulizo. Singa mukama yagabirira n'okukuuma era n'okukolera Yakobo olwo ne yakobo yali wa kuleeta ekimu eky'ekkumi. Singa waali wo etteka ku ky'ekkumi mu kiseera kino musajja mukulu Yakobo yali wa kuleeta ekimu ekyekkumi. singa waali wo etteeka ku ky'ekkumi mu kiseera kino musajja mukulu Yakobo teyandisoose kusubiza Mukama. Bino byonna biraga nti tewaaliwo tteeka liragira kuwayo kya kkumi ng'amateeka ga Musa ku Sinai tegannaba kujja.

EBITUNDU BY'EKKUMI KYALI KIYUNDU KU MATEEKA AG'EMIKOLO.

Eky'amazima kiri nti eby'ekkumi kyali kituundu ku mateeka ga Musa ag'emikolo (kyam 14:22-29, 26:12). Naye obulimba bwokulowooza nti osanga waaliwo etteka ery'enkalakkalira mu biseera bya Ibulayimu ne Yakobo, obulimba buno buzuuka omaze bulungi okuyiga ku nkola y'okukola. Kubanga okukomola kuno kwaliwo ddannyo nga ne Musa tannajja (Lub 17:10) era kuteekebwa mu mateeka g'emikolo nga n'eby'ekkumi bwe byali (Kuv 12:44,48) ne (Balev 12:3)

So no nga Paulo ayogera lwatu mu Bak 2:16-17 nti okufa kwa kristo kwasanyawo enkola z'amateeka zonna, era ne (Bab 9:8-11) nti n'okukomola kwonna kwakoma. N'olwekyo wadde nga okukomola n'okuwa eby'ekkumi byaliwo ng'amateeka tegannaba kujja, ekyo tekyabifuula bya lubeerera.

EBIGENDERERWA N'ENKOZESA Y'EBITUNDU BY'EKKUMI

Mu (kyam 14) tulagibwa emigaso, ebigendererwa wamu n'enkozesa y'ekituundu ky'ekkumi. tunula olabe mu nnyiriri 22-29.

Mu Lunnyiriiri 22-23 Isiraeli yalagibwa okusooloza eby'ekkumi ku bibala by'ennimiro zaabwe, endiga era ne ku nte.

Mu lunnyiiriri 23 era ekitundu ky'ekkumi kiragirwa kukozesebwa mu kujaguza, okw'ebaza mukama abawadde omukisa omwaka oguyise era n'ekyo n'akibalagira so si buli wantu. Muno nga mwemuli omwenge, amafuta era n'ensolo.

Mu nnyiriri 24-26 ekifo ekyalagirwa okuwerwayo ekituundu ky'ekkumi bwe kyabanga ewala ennyo, Omuntu yalagibwanga okukitunda olwo nno agende ne ssente mu kifo kiri, era ng'olutuuka olagirwa okweguliramu kyonna omutima gwo kyegwagala ne weesanyusa wamu n'ennyumba yo. Gamba ng'oyinza okugulayo ku ebiyingula by'ennyama, endiga wamma gwe ne wesanyukira

Emirundi emeka gyo'wulidde ng'abasumba bo bakusomera ennyiriri ezo nga bakukanda okuleta ebitundi by'ekkumi? Amazima tebasobola kuzisoma kubanga bakimanyi nti olunaazisoma osobola okutandika okubabuuza ebibuuzo n'ekiddirira kuyuza mu luwombo lwabwe wamu n'olugogo mwe balembekera ensimbi mu bukyamu, nga beerimbise mu ''mbu'' mukama agambye....

Olunnyiriri 27 Abaleevi abaawerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu oba yeekaalu baalagirwa okuweebwangako ku bitundu by'ekkumi naye tebatuwa muwendo ki, nti kubanga bo tebaafuna munyago oba busika ku ttaka ne ku bibanja. Naye mu ndagaano empya Paulo annyonyola bulungi ntienkola ya Musa ey'obwakabona bw'ekirevi yakoma ku musaalaba era olwo kristo n'afuuka kabona waffe omukulu. N'olwekyo oyo omusumba wo ey'erimbise mu nkola y'ekireevi akikola mu bukyamu kubanga tetukyalina bakabona oba basumba batutabaganya ne Katonda, ogwo omuli Kristo yagutwala era mu (Mat 25) tujja kulaba enkola ya kristo gyayagala tuweemu era wamu n;okumuweereza.

Mu lunyiriri 28 ku buli nkomerero ya mwaka gwa Ssabbiti ogw'okusatu buli muntu mu Isiraeli yalinanga okujjako ekitundu ky'ekkumi ku byonna byafunye era n'akitereka mu ggwanika lye.

Mu lunyiriri 29 ate tulaba ng'abaleevi baafuna ku kitundu ky'ekkumi, kyokka ate era ekitundu ky'ekkumi kino kyaweebwanga abali mu bwetaavu nga abatambuze, enfuuzi, bannamwandu, wamu nababundabunda- olw'entalo.

Geraageranya enjigiriza ya Bayibuli eno wamu n'eya Ellen G White ate ye eyawandiika nti ensonga enkulu ey'ekitundu ky'ekkumi. Kuzimba masomero. Abalala ate bagamba nti ababuulizi b'enjiri y'ebitabo nabo baweebwe eby'ekkumi. naye bonna bakola ensobi emu okugayaalirira omulimu gw'ekitundu ky'ekkumi omukulu, kwe kugamba abaweereza. testimonies vol 9(pp 248-249)

Ellen White era agamba nti ekitundu ky'ekkumi tekirina kuyamba banaku (counsels on stewardship 103) lwaki mukyala White tawuliriza Bayibuli ku magezi g'etuwa ku bituundu by'ekkumi nga okugamba bamulekwa, abakadde, bannamwandu, bakateyamba n'abalala? Tujja kwongera okusunsula ensonga eno mu Mat 25, mu maaso eyo.

ENJIGIRIZA Y'EKITUNDU KY'EKKUMI EKY'OKUBIRI

Waliwo abantu abayigiriza mbu Kubala 14 Eyogera ku kuwaayo ekitundu ky'ekkumi eky'okubiri naye eno endowooza nnafu nnyo. Okusookera ddala mu Bayibuli yonna tewali wasangibwa lunnyiriri lwogera ku kitundu kya kkumi nti eky'okubiri eyo enjigiriza kuba kupangirira kwa bantu nga bagezaako okuleeta eby'ekkumi emabgga eri nga Musa tannaba kujja.

Mu butuufu Kyamateeka 14 eyogera ku kitundu ky'ekkumi kya mulundi gumu, era amadiini gano agayigiriza nti waliwo eky'okubiri ate ku mabaasa gaabwe bateekako kyakkumi kimu kyokka wama na kirabo buli asomesa nti waliwo eky'ekkumi eky'okubiri ekyo abeera akiggye mu magezi ge ku bubwe.

EKKANISA YO KIKI KY'ESINGA OKWETTANIRA?

Mu bwangu ddala ka twetegereze engeri ekkanisa yo gyejjumbiramu okulabirira bamulekwa, abakadde, bannamwandu, abalema, ababundabunda, wamu n'enfunzi. Pulojekiti z'ekkanisa meka ezirabirira bannamwandu, era amaka ga bamulekwa gali ameka mu kitundu ky'ewammwe nga ga kkanisa? ye abaffe amaka gabakadde wamu ne bakateeyamba nga ga kkanisa yo gali amake? eky'okuddamu kyo bwe kiba kibadde nti ''tewali'' olwo tubuuza nti lwaki tewali nkola bwetyo?

Tujja kwebuuza era nti makanisa ameka agali mu kitundu kyammwe? mmanyi ozzemu nti mangi nnyo, kati twebuuza muno makanisa ameka agalina abaweereza abasasulwa emisala? oba oli awo 99.9% ku basumba abakadde ne ba bishops basasulwa.

Kiyinzika okuba nga kya mazima ekkanisa nnyingi tezirinaayo wadde, kapulojekiti n'akamu aka labirira abakadde, enfuuzi, ne bakateeyamba lwa kuba nga omusimbi omunngi guggwera mu kuzimba bitebe bya makanisa gano, kusasula basumba misaala misava, amayumba agatemya ng'abantu wamu ne zikapyata ez'ebbeyi. Kino nno kitalo.

Buli Isiraeli lwe yagobereranga empa n'enkozeesa y'ekitundu ky'ekkumi mu Kyamateka 14. Okukozesa eky'ekkumi nga bagulumiza katonda, okuwa abaleevi n'abantu abala abeetaaga obuyambi, omulimu, oba omuntu yafunanga omukisa gwa mukama, Na bwe kityo bwe kuba nti amakanisa ga leero gakyakiririza mu by'ekkumi lwaki tegagoberera nkola ya Bayibuli? Tewali lukusa luweebwa muntu yenna kulondako ekyo ekimusanyusa n'alekayo ebitamusanyusa.

Ekkanisa yo kiki kyetwala ng'ekikulu, tweyongere okuwagira omulugube gwama diini oba tuweereze bantu abalina obwetaavu?

ENJIGIRIZA YA MALAKI KU KITUNDU KYEKKUMI

Nga tetunnaviira ddala ku nkola ya bitundu bya kkumi mu ndagaano enkadde, ka tusooke twe tegereze Malaki kubanga mu Malaki amakanisa agasinga mwe gasimbula enjigiriza zaago ku buwanika bw'ekikulisitaayo.

Tewali kubuusabuusa owulirizza ababuulizi bangi nga bayigiriza nti buli lwotasasula kitundu kya kkumi obeera onyaga katonda. Naye ka twetegereze ddala kiki Nabbi kye yali ayigiriza.

Mu ssula esooka etandika katonda akakasa Isiraeli nga bwabagala. Mu lunyiriri Malaki 1: 6-8 Mukama agamba nti ''mwe bakabona mmwe mwonoona erinya lyange'' bakabona beebuuza nti twalyonoona tutya? Mukama abaddamu nti ''Muleeta ebiweebwayo ebikyamu ku woolutaali yange'' nga muleeta ensolo enzibe z'amaaso, ennema, era endwadde, mu lunny 9

Kino akiddamu mu lunny 13 mukama alabula nti tajja kwaniriza Saddaka zino ennema, ezimenyese wamu n'endwadde. era mu lunny 14 mukama alabula nti ajja kuzigaana era tazaagalira ddala.

Mu ssula 2 mukama addamu okwolekera bakabona ng'abagamba nga bwe basomesezza eggwanga lyonna okukola ebikyamu. ebikyamu bino ne bakabona bya bazingiramu kubanga baalemwa okumatiza abantu omugaso gw'okubeera ab'amazima mu mbuga z'amateeka, wamu n'obulungi bw'okuwaayo eby'ekkumi ebitaliiko bulema eri mukama olunny 7-9

Mu ssuula 3 mukama alaga lwatu ekimunyiiza obuzibu buva wa? Bakabona nate era baali bagenda mu maaso n'okweroboza essadda ennungi era ensava mukama ne bamulekera ennema, enzibe z'amaaso wamu n'ezo endwadde. Mukama anenya bakabona era mu ssuula 3:5 agamba ''nti ajja kulwana n'abo abanyaga bannamwandu ne bamulekwa, era nti ajja kulwanyisa abo abanyaba abatambuze ne bannaggwanya eno y'ensonga y'emu ey'ekitundu ky'ekkumi eyogerwako mu mateeka 14

N'olwekyo obuzibu buli ku bakabona abaluvu abalya ku mukama saddaka ensava ate era ne balyazaamaanya n'abanaku abandibadde bafuna omungago gwabwe ku bitundu by'ekkumi.

Mu suula 3:8 ''omuntu alinyaga Katonda?'' bakabona baagala okumanya baanyaga batya mukama era katonda abaanukula nti mwannyagako ebitundu by'ekkumi n'ebiweebwayo.

Ensonga y'okunyiiga kwa mukama eri nti baamunnyagako saddaaka ennungi, bakabona babbi, olunyiriri 9 lugamba nti tebabbye katonda yekka naye ate babbye n'eggwanga lyonna, ne baleetera katonda okuyimiriza emikisa gye eri abantu. olw'okuba abantu baalabira ku bakabona baabwe nga beesigaliza saddaaka ennungi nabo batandika okukola ekintu kye kimu ne batandika okuleetera mukama busaddaka obulema era obukyamu.

Wano tukiraba nti katonda tayogera kubutaweera ddala kitundu kya kkumi na biwebwayo naye ayogera ku abo abeggweera saddaka ne batwalira mu n;eza mukama wamu ne'byo ebyandiweereddwa ba kateeyamba.

Naye twebuuza katonda bino yali abigamba baani? yali abigamba bakabona n'abo bonna abezibikanga saddaaka ennungi n'ebyekkumi, Katonda wamu n'abanaku ne bakwata mu lya mpiki.

Nkuwa ga buwa okuva kati buli lwolaba omusumba wo ng'asoma mal 3:8 n'atandika okukusongamu ennwe, jjukira nnyo omulamwa gwa Malaki nti ye yennyini omusumba y'agwanidde okuteekebwa ku mulumyo

Buli mukulembeze yenna bwagezaako okuvulunga ekigambo kya mukama olw'amagoba ge ng'omuntu mukama yetegese okumugolokokerako. (Mal 2:8)

----------------------------------------

ESSULA 2

ENJIGIRIZA Y'ENDAGAANO EMPYA KU BUTUNDU BY'EKKUMI


Matayo akoona ku kitundu ky'ekkumi mu Matayo 23:23 Yesu bwajja anenya nnyo abayudaaya olw'okubeeranga abeegendereza ennyo mu kuwaayo ebitundu by'ekkumi ne ku buddo obutono ennyo nga aruta ne kumino naye ne beerabira ensonga enkulu nga obutalyazaamanyanga, okukkiriza wamu n'ekisa eri bannaabwe.

Abafalisaayo Yesu baayogereramu wano baali bakyafugibwa amateeka gali ag'emikolo kubanga kristo yali tannaba kuwanikibwa galyoke gakomezebwe. era tewaliiwo lunyiriri lwonna mu bayibuli lulaga nti Kristo oba abayigirizabe baasabako ku bantu ekitundu ky'ekkumi

So nno ng'ate mu ndagaano empya tulaba nnyo Kristo ne basajja be nga beenyigira nnyo mu kuyamba abazibe, abayaga, abalwaddw, n'abali mu bwetaavu.

Ye abaffe twebuuza yesu yabeeranga atya? kimu kyokka kyetumanyi nti yali mubazzi naye tetumulaba bwabajja eno mu bukulu naye kyetulinako bwino kye kyokuba nti yayimirirangawo lwa nsimbi ezaaletebwanga mikwano gye wamu n'ebirabo ebirala (Lukka 8:3)

Mu Matayo 10 ne Lukka 10 Yesu atongoza okukkiriza obuwagizi n'obugabirizi obuva mu mikwano bwatuma basajja be n'abagamba nti batwale ngoye zzabwe zokka ze bambadde nga bwakkatiriza nti omukozi w'omulimu agwanira okuweebwa ebyo bye yeetaaga, mu (Yok 4:35-36) Kristo aggumiza nti empeera y'okumuweereza kwe kuleta emyoyo nga gikkiriza enjiri ey'obulokozi.

Ebirabo ebiweebwa nga kyeyagalire byawukanira ddala ku mitemwa egisalibwa mbu gya bitundu bya kkumi. kyandibadde kya magezi omusumba okuyamba ekisibo nti oba eriyo eyeetegese okunyamba mu mulimu gw'enjiri awagire, era ne bwe watabaawo yeetegese mu ssaawa eyo omusumba abeera n'okukkiriza nti mukama ajja kugabirira.

Ekyokulabirako ekirunngi ekirunngi kye ky'olugero lwa yesu olw'omusamaliya omulungi. Yesu yagamba abaali bamuwuliriza nti nammwe mugende mukole bwe mutyo. Okuyamba omuntu yenna ali mu buzibu oba mubwetaavu kyokka nga tomusuubirmu mpeera.

Enkola eno eteri ya kitume ey'okupangisanga oba okuwa abasumba emisaala, esimbulwa mu ekereziya enkatolika, kubanga abo be baatandiikiriza omuze gw'okuteekawo omutabaganya wakati wa katonda n'omuntu era nga ono alina kubeera kabona so si kristo. ekyo no kikyamu kubanga ye Paulo ayigiiriza lwatu nti tetukyalina mutabaganya mulala okujjako Kristo yekka (1Tim 2:5)

Ekyomukisa omulungi abazza ekknisa obuggya aba polotesitante bwe baayabulira ekereziya, ne bagaana okweyambisa abantu mbu be batabaganya b'omuntu ne katonda, naye ebyembi baalemwa okujjawo ekyokusasulanga abaweereza emisaala. Tewaliiwo bujulizi bwonna butulaga nti mukama waffe yesu oba abayigirizabe bawebwanga ensako n'emisaala era bonna abakikola babengudde ku byawandiikibwa ebitukuvu.

EBITUNDU BY'EKKUMI N'OKUWAGIRA ABAWEEREZA NGA YESU AMAZE OKUFA

Kati tugenda kulaba oba ddala ebitundu by'ekkumi bitulagirwa okuva oluvannyuma lwa saddaka ya Kristo. Kristo bwe yafa eggigi lya yeekaalu lyayulika wakati era kino nga kitegeeza nti amateeka gonna agemikolo gakomezeddwa. Paulo akkatiriza bulungi ku nsonga eno nti amateeka nga okulya ennyama, eby'okunnywa, ebiweebwayo, ennaku entukuvu ne zi Sabbiiti byonna byamalibwamu amaanyi, Yesu nga amaze okutuweerayo saddaaka eyekitibwa(Bak 2:16-17) (Beb 9:8-11)

Olw'okuba nti eby'ekkumi lyali limu ku mateeka ag'emikolo era nga lye limu ku ago agaasangulwawo ne saddaka ya Kristo kati ekituweesa ebituundu by'ekkumi ddala kiki?

Eby'ekkumi, okukomola, Sabbiti ez'emikolo, okunaaba okwenjawulo, wamu ne Saddaka byonna byakomererwa ku musaalaba era ne biggibwawo (Bag 5:15, ne 1bakol 7:19)

Ol'wkuba nga omutume Paulo ye muntu yekka addirira Kristo mu ttutumu mu ndagaano empya, ate era nti yali mukkiriza mukuukuntivu owa Kristo kiba kya nsonga okutwala eky'okulabirako kye ffenna nga abakulistaayo.

Obukakafu bwa Bayibuli butulaga nti Paulo teyasaba ku bitundu bya kkumi. Kubanga yeewaana n'okwewaanira ku Bakkolinso nti yafuula enjiri ya Kristo okubeera ey'obwereere (1bako 9:18) so nno ng'ate yalina eddembe okubasaba empeera olw'okuweereza kwe (okwo olunny 13) mu lunnyiriri 15 Paulo atugamba nti obuyinza bw'okusaba abakkiriza ensimbi teyabukozesa. Ababuulizi n'abasumba bo bangi mmanyi tebasukka lunnyiriri olwa 1Bakol 9:14. bwe babaayo be batono ddala. Paulo amaliriza atutegeeza nti ye essanyu lye riri mu kuweereza balala olwekyeyagalire mu linnya lya yesu mu lunnyiriri 18 era ayongerako nti teyeetaaga kuwaanibwa oba kusiimibwa olwokubulira enjiri kubanga ekyo kyateekeddwa okukola nh'omwana omugonvu.

Waliwo ebigambo bya Paulo abantu bye batera okukwata obubi era ne babitabula, so no nga Paulo asigala tekubaganye na bigambo bye ka bikwatagane n'okuwayo mu kkanisa. Bwetusoma mu 1kol Paulo atugamba nti tasobola kukkiriza kuweebwa musaala olw'okuweereza kwe mu kkanisa... Bwaba annyikiza ku nsonga eno mu 2kol 11 atulaga nti ''Nnanyaga ekkanisa endala nga nzikiriza ebirabo byabwe olwokubaweereza'' (New oxford annotated Bible)

Mululimi olu Gereeki(Greek) olwakozesebwanga mu biseera ebyo, ekigambo ekikozesebwa mu lunnyiriri luno abamu kye bavvuunula ''ng'omusala'' kitegeeza bitole bya mmere. (Opsonion) nga kiva mu kigambo (Optos) nga kikwatagana na bintu bifumbiddwa, n'olwekyo bwagamba nti yanyaga ekkanisa... ku lwabwe, yali ategeeza nti yaweebwa emmere abantu mikwano gye so ssi musala gwa bitundu bya kkumi.

Ekitufu kye kino nti Paulo yawebwako ku buyambi okuva mu mikwano gye asobole okutuuka mu bituundu ebirara naye nga guno tegwali musaala omugereke, kyava ayogera nti yafuula enjiri ya Kristo okubeera ey'obweereere, n'olwekyo teyeekuba ndobo wantu wonna. Kubanga ekyokuweebwa ebirabo mu kyeyagalire ekyo ne Kristo kye yakozesanga mu Lukka 8.

Wadde nga Paulo yakkiriza nga ebirabo bino oluusi okuva mu mikwano gye, naye tumulaba nga yali musajja mukozi nnyo mu kuluka zi weema era nga yali musajja mukozi nnyo mu kuluka zi weema era omwo mwe yaggya nga ekigulila magala eddiba(Bak 1:31). Gwe omusumba wo wasemba ddi okumulaba ng'akola n'emikono gye okusobola okufuna ku nsimbi? Mu (2bases 3:6-13) Paulo atugamba nti yakolanga emisana n'ekiro era teyalya mmere ya muntu yenna ya bw'ereere, kyova olaba nga mu 1Kol 11:1 atusaba okumugoberera nga naye bwagoberera Kristo.

Enkola ya Paulo yali ya bwannakyewa era ng'omwo mwafuna essanyu ly'obulokozi. Omuntu yenna okulowooza nti ate mu bwanakyewa buno Paulo yali asaba misaala mu bitundu by'ekkumi kiba kiraga nti omukulembeze oyo mukendeevu mu kumanya era n'obulimba mulimba nga Jjembe

YE CONSTANTINO OMULUUMI AGAMBA ATYA?

Enkola y'okusaba ebituundu by'ekkumi abatume tebaagirina, naye ate byajja bitya okutandiika okukozesebwa mu makanisa agasinga obungi? Okumalira ddala emyaka 300 nga Yesu amaze okufa abasumba n'ababuulizi b'enjiri baalinga bannakyewa. kyokka Constantino empura omuluumi eyawandiika etteka lya Sunday eryasooka mu 321AD ye muntu y'omu era eyatandiikiriza okusasula nga bannaddini mu makanisa. mu bukulembeze bwe abasumba yatandika okubasasula ku nsimbi za gavument oba mu mawanika g'enkiiko z'ebibuga (municipal councils)

Omuntu ono y'omu eyaleeta okufuula sunday ng'olunaku olutukuvu, oluvannyuma n'ekeleziya katolika wamu n'abapolotestante ne bakibuukira. Constantino ono era ye yatandika enkola y'okuzimba amakanisa amanene ag'ebbeyi kwokomya amaaso mu Yerusaalemi, Beserekemu, Constentino ne mu bifo ebirala. Mu kiseera kye kimu n'asalawo okutandika okusasula abasumba emisaala emisava n'ebafuula abatunzi b'enjiri ya Kristo, ekyo nno kitalo!! Bwatyo constenino n'afuula obusumba okubeera omulimu, nga tebawa musolo, tebawandiikibwa mu magye, nga yeerabidde nti mu biseera bya Paulo omuweereza yeekoleereranga(2Tim 2:3)

Gye byasembera kyazuulibwa ng'okusobola okubeezaawo abasumba n'okwejalabya kwabwe walina okussibwawo omusolo ku bantu era nga kye ky'ekkumi ne yerabira nti kino kyali kyakomererwa dda ku musaalaba era ne kikoma.

Enkola zino zonna constantino zeyatandika ng'asaaga omuli okufuula sunday olunaku olutukuvu, okusasula abasumba emisaala, wamu n;okuwa ebitundu bye'ekkumi byagenda bisimba amakanda era ne bikoppebwa ekereziya mu (Constantine and Christianity in ancient European and Church History )

TEWEERABIRA BINO

Jjukira nnyo kino nti oluvannyuma lw'omusaalaba tewali lunyiriri lulaga Paulo oba abatume abalala nti basaba oba bawa ebitundu by'ekkumi. Mu 1pet 5:2 ye Petero agamba nti aweereza Kristo mu kwagala naye si lwa magoba... Paulo akkiriziganya ne Kristo nti omuweereza w'enjiri aweebwenga ebirabo era mu Bik 18 Paulo bwe yali ne Akula wamu ne Pulisika baali beekolera weema nga mwe bajja ejjamba.

Teri bukakafu bulaga nti Paulo yasomesa oba yalagira abawereza okuweebwanga emisaala, wamu n'ensako mbu olw'okuba basomesa Bayibuli era ye Paulo ayogera kaati ng'omusezi agula essowaani nti ye ne mikwano gye tebatunda oba tebasuubuza njiri (2kol 2:17) Bannaffe tunaagenda mu maaso n'okuyimirizaawo omulugube gwa bannaddiini oba tuweereze bantu abali mu bwetaavu?

----------------------------------------

ESSUULA 3

OKUWAAYO ERI KABONA WO ASINGA OBUKULU


Tumaze okukiraba nti enkola yonna ey'amateeka g'emikolo ey'endagaano enkadde yakomeezebwa olwa saddaaka ya Yesu. Era nga mu byakomezebwa mwe muli bakabona, saddaaka, okunaaba okwemikolo ne zissabbiiti z'emyaka, okukomola, eby'ekkumi n'amateeka amalala lutotto.

Olw'okufuuka saddaka ku lwaffe, Kristo ow'omukika kya Yuda yafuuka kabona waffe asinga obukulu. Mu Beb 7 Paulo atulaga nti bakabona baafuuga erane basikirwa bannaabwe ng'enkola ya Merekizeddeki bweri olunyiriri 2 nti era oyo jjajjaffe Ibulayimu gwe yawa ekitundu ky'ekkumi era nti oyo kyali isiikirize kya Kristo Masiya kabaka ataggwawo. Paulo ayongera okutulaga nga mu mateeka bakabona bwe baalagirwa okuweebwanga aomunyago ku bitundu by'ekkumi kyokka ebyembi amateeka gano ne gajja gasangulwawo omusaayi gwa saddaaka ya Yesu. Kati ababiwa babiwa ani nga bakabona baggibwawo era nga n'etteeka mwe baabiweerwanga lyasangulwawo? weegendeereze akatego!!

Kati kabona waffe asinga obukulu tumuwa tutya? Tumuwa nsimbi zaffe ku bulabirizi mu misaala gy'abakozi: Tuziwa oyo gwe twagala ennyo mu baweereza ku terefaayina(T.V)? Oba ku leediyo: bannaffe tumuwa tutya? Amazima gali nti Kristo mwanjulukufu nnyo kunsonga z'okumuwa oba okumuddiza mu (Mat 25:34-46) atugamba nti bwalikomawo alyawulamu endiga ku mbuzi, abajeemu mu batuukirivu, era aziyingize mu bwakabaka.

Kristo annyonnyola ensonga kwaliva okukkiriza abatukuvu era abannunule ''Nali muyala, mwampa eky'okulya nalina ennyonta, mwampa ekyo'kunywa, nali mutambuze nga sirina w'ensula, ne mujja mu nsaze, nali bwereere ne munnyambaza bwe nali mu kkomera mwajja ne mundaba''

Kati abatukuvu balimubuuza nti ''twakulaba ddi ng'ebintu bino byonna bikuliko ne tukuyamba?'' alibaddamu nti ''buli kye mwakolera baganda bange bano abaali obubi era mu bwetaavu mwakikolera nze'' Abantu bano abalina obwetaavu be baganda ba Yesu kale twanguwe tugende tubayambe.

Bannange; tetusindika nsimbi zaffe ku bulabirizi mu bantu abatali na Baleevi ne batandika okuvuga zi benzi, okukola embaga, n'amayumba kwokomya amaaso, olwo ne tulowooza mbu tuziwadde Katonda, ekyo tekiriiyo!! Jjukira kino nti okuwaayo obuyambi eri bakateyamba tekitegeeza nti olina kuwaayo erii Katonda okusinga bweyandiwadde mu nkola y'ekireevi.

On'ojjukira wama nti mu biseera bya musa ekkanisa era yeyakolanga nga gavumenti na bwe kityo buli abantu lwe baawangayo mu kkanisa era baabanga bawaddeyo eri gavumant. Naye leero ebintu bino byombi byadda wa.

Olw'aleero mu saddaaka ya Yesu, tumuddiza ku byaffe nga tuyamba abo bonna abali mu bwetaavu. Ekkanisa yo kiki kyesinga okwettanira, kuyamba bantu oba kugula ttaka na kuzimba bizimbe n'okusanyusa abakulembeze abayigiriza nti okukula mu mwoyo kulabikira ku bizimbe bya makanisa? So nno nga mukama waffe tageraageranyangako kukula mu mwoyo na bizimbe ye kyayagala kwe kuyamba abo bonna abeetaaga obuyambi bwaffe. webuuze nti abange ekkanisa mwensabira ekola etya era nange nzennyini nkola ntya okuddiza ku Katonda wange?

----------------------------------------

ESSUULLA IV

OBUTALI BWENKANYA MU NKOLA Z'AMAKANISA


Wadde ng'obujulizi bwonna buweereddwa okukakasa nti ebintundu bye'ekkumi byasangulwawo waliwo amakanisa agamu agakyalemeddeko nga gagamba nti wadde ng'amatekka g'emikolo gaakoma ku musaalaba byo ebitundu by'ekkumi bikyaguga. Naye wadde enjigiriza eyo nkyamu ka tusooke twefuule abagikkiriza olwo nno tugikebere tuzuulire ddala mazima.

Oba ebitundu by'ekkumi bino ebyali ekitundu ku mateeka ag'emikolo bikyaliwo nga ate go gakoma kiki ekibalobera n'okukwata amateeka gano amalala agalifaanana okugeza nga;

Bakabona abaleevi tebakirizibwanga kubeera na tteka oba eby'obugagga ebirala. n'amakanisa gano nga gagaana abasumba baago okubeera n'eby'obugagga?

Mu kyamateeka 14 kiragibwa lwatu nti ekitundu ku by'ekkumi kyalekebwanga eri oyo akireese n'amaka ge, bannamwandu, bamulekwa, ababundabunda, wamu nabakadde nabo baaweebwangako, naye wali owuliddeko ku musumba wo ng'akugamba naawe osigazeeko ku kitundu ky'ekkumi? Oba nti akatundu kaweebwe abali mu bwetaavu ebyembi abasumba bayigiriza nti ne bwaba mwana wo ng'akanuka togeza ne weyambisa ku nsimbi z'ekitundu ky'ekkumi. Kale balina agatima!!

Twakirabye dda nti mu nnaku za Malaki Bakabna baali beeroboza saddaaka ensava nebiweebwayo ebinene ''nalya'' obusammambiro, kiri kitya leeroba Bishops n'abasumba tebali mu kwegabira gasaala na nsako bisava ngabanaku beekomba binkumu nakweyaguza njo?

Si kya mazima okwekanya abasumba ba leero ne ba kabona b'omunnaku za Musa. Kubanga bakabona bali baasalanga zi saddaka era nga be bayimirirawo okutabaganya omuntu ne katonda we. olwaleero ebyo byakyuka omutabaganya waffe ne katonda yakikola omulundi gumu ne kiggwa ye Kristo Yesu mukama waffe, kati bye boogerako babiggya wa?

Bakabona bonna baavanga mu kika kya Levi, mpozzi n'omusumba wo wa mukika kya Levi? oba nga tali ebintu abyesonyiwe era asirike oba si ekyo wakiri anuune ku vvu. Kubala 3 bwagamba.

Ekkanisa ziyigiriza nti buli nsimbi yonna efuniddwa erina okuggibwako eky'ekkumi, kyokka ye balev 27 Musa agamba nti ensigo zensi wamu n'ebibala okwo kwe munaggyanga eby'ekkumi mpozzi ne ku magana. Kati olwo ffe abavubi tukole tutya, ye abasazi b'embaawo, abakozi b'awaka n'abalusi wama n'abaweesi bo bawa kyaki ng'ate tebaliimu mu ntekateeka ya Katonda?

Abebbulaniya baalagirwa okuleeta eby'ekkumi byabwe mu mmere (Mal 3) so si nsimbi, era obanga waliwo eyayinzanga okuleeta ensimbi yawaliribwanga okwongerako ebituundu ebirala 20 oba 20% mpozzi n'ekkanisa yo ebasaba kuleeta mmere oba ssente mu kitundu ky'ekkumi? (Balev 27:30)

Amakanisa tumaze okukiraba nti tegakkiriza bantu baabwe kukwata teeka lyonna mu bujjuvu bwalyo wabula balondamu obutundu obunnabasobozesa okwefunira ku nsimbi wamu n'okweyagala. Munnange wegendereze kano katego k'ennyini okukujja mu kisa kya Kristo olyoke ozikirire.

----------------------------------------

ESSUULLA V

AKAGERO AKATUUKIRA OBULUNGI KU BULAMU


Olunaku lwakya bulungi mu April(Apuli) lwali lwa kasana akawoomeerevu era nga n'oluwewo luguumirira olwo nno ne zireeta omusumba Smith omupolotestanta mu motoka ye empya eyekika kya mercury ng'ayolekera ekisaawe kya Golf era mu kapyata muno yalimu ne biraza Brown omukulu w'abadinkoni era olukiiko lw'ekkanisa lwali lubindabinda mu ssaawa ssatu zokka eziddirira.

olukiiko lw'ekkanisa luno lwali lugenda kubeera lukulu nnyo kubanga ezimu ku nsonga (1) Okunnoonya n'okutema empenda z'ensimbi okwongera ku kizimbe ky'ekkanisa yaabwe egaziyire ddala (2) Okuteesa ku nneeyisa y'omudinkoni munnaabwe omulala. Kubanga omudinkoni ono yali afunye omuze oba yali awaganyadde nga takyaweereza nsimbi ze ez'ekituundu ky'ekkumi ku bulabirizi waggulu mu bakamaabe, nti nga ye ezize aziwa maka gaba kateeyamba, omuli ebibiina nga salvation Army, kuno nno kyanyiiza nnyo abakulu nti bo banaafuna batya emsaala n'okubeerako obulungi ng'ate ono omudinkoni sente az'onoonera mu bakateyamba, abakadde, wamu n'enfuuzi? ekigendererwa ky'olukiiko luno kyali kya kumukangavuula asobole okudda kumulamwa. Bannange laba setaani!! Omusumba Smith n'omudinkoni ono kye baava basalawo okujja erudda eno okwegeyamu ng'olukiiko terunnatandika.

Mu keetalo kano essimu y'omusumba Smith yavuga, bwagikwata, eddoboozi lye yafuna lyali lya mukazi eyawulikika ng'ali mu nnyiike era nga munafu nnyo era nga kirabika talina na w'agenda kusula kubanga yali atambula olugendo oluwanvu okuva e Charlotte okugenda mu Baltimore ye ne kawalake ak'emyaka esatugye baali basuubira okusula mu b'emikwano okutuusa lwe yandifunye akalimu kubamga n'wkyokulya nga bawamma kiwamme.

Ekimotoka kye ekikadde ekya Honda model 1981 kyali kifudde Lajenta era nga kijja kumumalako $74.39 kyokka nga mu nsawo yali asigazizzamu $38.00 zokka. Kyava yeegayirira omusumba amufunireyo ku buyambi alongoose lajenta ye asobole okweyongerayo.

Omusumba yasooka n'agogola ku mimiro, n'atandika okunnyonnyola omukyala ono nga bwe yali mu motoka ye n'omukulu w'abadinkoni era nga baliko olukiiko olukulu ennyogye balaga, bwatyo n'amugamba nti agezeeko okuddamu kukuba enkya waalwo, amale okuddayo y'egeyeemu n'akakiiko k'ekkanisa balabe oba nga banaaba balinawo ku busente bwonna obuyinza okuyamba mu nsonga efaanana bwetyo.

Omukyala yagezaako okunnyonnyola omusumba nga bwe yali yeetaaga akamotoka ke okuddabirizibwa kwolwo lwennyini kubanga teyalina na nsimbi za kusasula mu woteeri nga asiwa nsaano ku mazzi bwatyo mu bukoowu obungi era mu nnaku ey'ekitalo yeebaza omusumba olwebiseera bye namusiibula.

Mukama nga bwateerabira babe, ebusukka kkubo waaliwo omwami nakyewa ow'ekibiina kya Salvation army eyali addaabiriza endabirwamu eyali eyatise ku izimbe kyabwe ekikadde mwe baakoleranga emirimu. Essimu ye yavuga era bwe yagikwata eddoboozi ly'omukyala y'omu oli eyali asobeddwa lyannyonnyola obuzibu n'obwetaavu bweyalimu. omwami ono namusuubiza era n'emukakasa okumutwalako amangu ddala n'akasente okuddaabiriza emotoka ye, era n'amugumya nti agenda kumuleeta ye ne kawala ke eno ku Salvation Army bafune ku k'okulya era n'okwetereeza balyoke beyongereyo n'olugendo lwabwe.

Ku bantu bano bombi era ne ku kibiina by'eddiini byombi ani yali ow'okufuna omukisa gwa yesu bwaliba akomyewo okwawula endiga mu mbuzi? Era olowooza kibiina ki ku bino ekiddiza mukama era kabona waffe asinga obukulu? ensi eno!!!

----------------------------------------

FUMIINTIIRIZA KU BINO

Tulabye bulungi mu Bayibuli nti:

(a) Ebituundu by'ekkumi byasabibwanga mu nkola yakireevi

(b) Eby'ekkumi byasabibwanga ku bibala bya nnimiro

(c) Ebituundu by'ekkumi byakozesebwanga kujagalaza mukama mpozzi n'okuyamba abanaku abatalina wamu n'abaleevi.

(d) Saddaaka ya Yesus ng'emaze okuweebwanga amateeka ganno ag'emikolo gasazibwamu nga mwemuli nokukomola wamu n'ebitundu by'ekkumi.

(F) Paulo wamu n'abatume bonna ne Yesu mukama waffe baatongoza birabo ebirabo ebiweebwa mu kyeyagalire si nsimbi za ssalira mbu bitundu bya Kkumi.

(j) Tewaliiwo kyawandiikibwa kitulaga nti Paulo n'abatume abalala baalya ku kitundu by'ekkumi

(h)Enkola yobwakabona ne zisaddaaka ne byonna bye baawangayo abantu byasangulwawo omusaayi gwa Yesu.

EBISEMBAYO

Ebbanga ttono emabega omusumba ne Kristo baali batambula mu kifo ekyesudda abantu mu kitundu kyewammwe. Nga batudde mu mulyango gw'ekifulukwa ekimu akalenzi alatewera mu myaka nga musanvu, Amaaso gakakanuse kesowolayo ne kagasimbagana n'omusumba wame ne Yesu. Obuviiri bwakaana kano obwezinze saako enziina zaako eziddugala n'ebigatto ebikunjubuse mu bigere bwako omutali sitokisi nga n'obwala bulingiriza mu madirisa g'ebigatto.

Omusumba bwakuba ku Yesu eriiso yamubuuza nti naye lwaki okkiriza n'okuleka embeera eno okubeerawo? Lwaki akiriza n'okuleka embeera eno okubeerawo? Lwaki tobeerako kyokola eri omuntu afaanana bwati?

Yesu yakwata omusumba ku mukono era n'amutunula mu mmunye n'amugamba nti ''Waliwo kye nnakola, nakutonda ggwe nabakkiriza abali mu Kkanisa yo''

EKIBUUZO EKISEMBAYO

Gwe n'ekkanisa yo munaagenda mu maaso n'okubala nga mukula mu by'omwoyo nga mwesigama ku bizimbe n'omuwendo gw'obungi bwabantu mukkanisa? okubala ensimbi z'ebitundu by'ekumi mmeka ze mukunganyiza wamu n'abasumba abafuna emisaala egisinga obusava?

oba ggwe n'ekkanisa yo munaatandika okuyamba n'okubudaabuda omwana oyo omunaku? Jjukira nnyo nti mukama waffe ye yayita omwana oyo omuto muganda we, muganda w'omulokozi wo on'omukolera ki? Omwana oyo omuto on'omukola otya? N'ekisembayo Kristo mukama waffe on'omukola otya?

----------------------------------------

CONTACT INFORMATION

FILLMER Hevener ed.D

224 Mohele Road

Farmville, Virginia 23901

(434) 392-6255

Web address: www.guthriememorial.org

----------------------------------------

EBIKWATA KUMUWANDIISI

Fillmer Hevener. ed.D muwandiisi Musumba ate Musomesa ku ddaala lya Polofeesa eyawummula, akola okunoonyereeza, Mususbuzi, ate yaliko omuminsane mu Uganda-Africa. Yasomera mu Yunivaasite ye Virginia era asomesezza mu zi Yunivasite me kolegi okuva e California, Maryland ne Virginia.

Yazaalibwa kumpi ne Staunton mu Virginia era yasooka kusomera mu busomero bweyo mu Augusta County, era naye ggye yasomesaako okumala akaseera. Musajja Mufumbo eri Celia Anchenbach Hevener. Balina abaana babiri, Dennis(Georgia) ne Yolanda Hevener Scheib(Maryland).

Mu 2001, Yatandikawo Guthrie Memorial chapel e farmville, Virginia. Kuno kwogatta okubeera nti alina obuweereza obwamanyi mu Africa, India ne mu Phillipines, Chapel enoo eyamba ku bantu ku bantu mu mbeera za bulijjo. Era ku bikwata ku Chapel eno n'emirimu gyayo egyekkanisa endagiriro yaayo: www.guthriememorial.org.

 Â© 2005 Guthrie Memorial Chapel